ESSAALA Z'ABAFU (#6236)

Ekitiibwa kibe gyoli, Ayi MukamaKatonda wange!  Tomufeebya oyo gwewa gulumiziza nga oyita mu maanyi ag'obwakabaka Bwo obutagwaawo, era tomusuula wata oyo gwewakirizza okuyingira eweema ey'obutaggwawo Bwo.  Onoomusula muguluka, Ayi Katonda wange, oyo gw'osiikirizza n'obukama Bwo, era on'omugoba okuva Woli, oyo, Ayi Okwegomba kwange, nga Ggwe obaddeobubudamo bwe?  Oyinza okumussa wansi oyo gw'oyimusizza oba okumwerabira oyo Gwewasobozesa okukujukira?  
Oli wakitiibwa, Ggwe oli wakitiibwa ekiyitiridde!  Ggwe okuva dda nedda, Ggwe Kabaka w'ebitonde byonna era Ggwe abiwa obulamu, era Ggwe emirembe n'emirembe, Ggwe olisigala nga Mukama ow'ebitonde byonna, era Ggwe abitonda. Oli wakitiibwa Ayi Mukama wange!  Singa Ggwe otekeraawo okukwatirwa abaddu Bo ekisa, ani anabalaga ekisa, era singa tobayamba, ani anabayamba?  
Oli wakitiibwa, Ggwe Oli wakitiibwa ekitayogerekeka!  Ggwe eyegombebwa mu mazima Go, era Ggwetusinza ffena, era Ggwe alaga obwenkanya, era Ggwe tuwaako obujjulizi ffena.  Ggwe mu mazima oyagalibwa olw'emikisa Gyo.  Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Omuyambi mu kabi, Eyemalirira.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

ESSAALA Z'ABAFU (#6235)

*Essaala y’Abafu:  Essaala eno erina okukozesebwa ku Babahá’í abasussa emyaka ekkumi neetaano. “Eno y’essaala ya Bahá’í yokka eyetteeka okuddibwamu abantu bonna awamu;  eteekwa okuddibwamu omukkiriza omu nga abalala bonna bayimiridde mu kasirise…  Tekyetaagisa kwolekeza bwanga e Qiblih essaala eno bw’ebeera nga eddibwamu.
- Byava mu Kitáb-i-Aqdas

Ayi Katonda wange!  Ono ye muddu Wo era omwana w'omuddu Wo abadde akkiririza mu Ggwe ne mu bubonero Bwo, era amaaso ge n’agatunuza eri Ggwe, ne yeerekereza byonna wabula Ggwe.  Ddaladdala, Ggwe oli omu ku abo aboolesa obusaasizi Omusaasizi Asinga.
Ayi Ggwe Asonyiwa ebyonoono by'abantu era Akweka ensobi zaabwe, Omulamule nga bwe kisaanira eggulu ly'ebirabo Byo, era ne ssemayanja w’ekisa Kyo.  Omukkirize okuyingira mu bifo by’okusaasira Kwo okutukuvu ebyaliwo nga omusingi gw'ensi n’eggulu tegunnabaawo.  Teri Katonda wabula Ggwe, Asonyiwa-olubeerera, Omugabi-Asinga.
*Oluvannyuma asaana addemu emirundi mukaaga okulamusa kuno nti “Alláh-u-Abhá”, ate era addemu emirundi kkumi na mwenda buli lumu ku nnyiriri zino:
Alláh-u-Abhá ( x1)
Ddaladdala, ffenna tusinza Katonda.(x19)
Alláh-u-Abhá ( x1)
Ddaladdala, ffenna tuvunnamira Katonda. ( x19)
Alláh-u-Abhá ( x1)
Ddaladdala, ffenna twewaayo eri Katonda. (x19)
Alláh-u-Abhá ( x1)
Ddaladdala, ffenna tutendereza Katonda. (x19)
Alláh-u-Abhá ( x1)
Ddaladdala, ffenna twebaza Katonda. ( x19)
Alláh-u-Abhá ( x1)
Ddaladdala, ffenna tuli bagumiikiriza mu Katonda. ( x19)

*(Singa omufu abeera mukazi, asaana agambe nti: Ono muzaana Wo era muwala w'omuzaana Wo, …)

-Bahá'u'lláh
-----------------------

ESSAALA Z'ABAFU (#6237)

Ayi Katonda wange!  Ayi Ggwe Omusonyiyi w'ebyonoono, Omugabi w'ebirabo, Ajjawo okunyolwa!  
Ddala ddala nkwegayiridde osonyiwe ebyonono byabo abavudde mu kyambalo kino ekyomubiri, nebagya munsi y'emwoyo.  
Ayi Mukama wange!  Banaazeeko ebyonoono byabwe, omalewo okunyolwa kwabwe, era ekizikiza kyabwe okifuule omusana.  Obayambe okuyingira mu lusuku lw'essanyu Lyo, obatukuze n'amazziamatukuvu era obakirize okulaba ku kumasamasa kw'obulungi Bwo, ku lusozi Lwo, olusingira ddala obugulumivu.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

